Select Page

Uganda Anarchist Forums Uganda Elite Class Buganda Kingdom Lacks Accountability MAYIGA YATANDIKA OKUKOZESA SOCIAL MEDIA

#204786
Uganda Anarchist
Keymaster

MAYIGA YATANDIKA OKUKOZESA SOCIAL MEDIA

ABATABADDEEWO BULIJJO NAYE NGA BAAGALA OKUMANYA OMUTAWANA WEGWAVA – NGA EYALI KATIKKIRO JB WALUSIMBI AGENDA OKUZZAAYO DDAMULA MAYIGA YATANDIKA OKUKOZESA SOCIAL MEDIA NGA YERANGA NGA KATIKKIRO ADDAKO NGA AYITA MU BAWUZZI BOBUNYAMA. YAKOLA COMPAIGN YOKUMULONDA KU BWA KATIKKIRO ERA NGA BULI ASABA TULINDE KABAKA ALONDE AVUMIBWA BUBI NNYO – KATI EMYAKA MUSANVU NGA ABANTU BA MAYIGA BAVUMA BULI AYOGERA KU NSOBI EZIGENDA MU MAASO , NAYE ABABADDENGA BAVUMIBWA AMAZIMA GABALINNYE NEBATANDIKA OKUJJAYO BYONNA BULIJJO BYEBOOGERAKO. ATE GAKYALI MABAGA.

1. Aboogerako bwebawakanya ekyokugamba nti Mayiga awangaale era aggundeggunde, baavumibwa.

2. Bwebawakanya ekya Mayiga okuyitanga ne nnamulondoye nagyagagaalamu abantu nebajja beyala wali – era baavumibwa.

3. Bwebawakanya ekya abawagizi ba Mayiga okumukoleranga ebiyitiriwa gyagendanga – era baavumibwa.

4. Bwebawakanya ekya Nantawetwa okugiteekako engalabi ekulira engoma okubeera embajjulemu, eyitibwemu engoma enkulu – era baavumibwa

5. Okuleeta obuleesi amawulire nti Abataka bemulugunyizza lwaki Mayiga tabaleka kulaba Kabaka – Era baavumibwa

6. Okuleeta amawulire kiteesebweko ekya Ssaabalangira okulangirira nti essiga lya katikkiro lirabika likolerera kumenyawo masiga malala gonna mu Buganda – era baavumibwa.

7. Okuleeta amawulire gamanyibwe nga emipiira gya masaza bwegitundibwa mu bannamawanga – era baavumibwa

8. Okubuuza baani abasala ebibanja mu ttaka lya masiro era kati amasiro ga Buganda ani agalinako obuyinza – era baavumibwa

9. Okuwakanya ekyokutunda Agakhan Olubiri lwa Kabaka olwe Mengo – era bavumibwa

10. Wakati awo ebiriwo bingi nnyo nnyo. Naye omulundi guno abantu baawulidde ebyayogeddwa nti Mayiga ali mu lukwe lwa kukola ku Kabaka wa Buganda bulabe – era ababyebuuza bavubibwa.

Mukama asaasire emyoyo gya abavumi, kubanga amazima go gakyaliwo era gajja kuwangula nga bulijjo.

Font Resize